Yobu 4:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)Okusinziira ku kyendabye; abo abateekateeka okukola ebibi era ne basiga ebitali bya butuukirivu,
bakungula bizibu.
Koseya 7:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)“Kabaka asanyukira obutali butuukirivu bwabwe,
n’abakungu basanyukira obulimba bwabwe.
Koseya 11:12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Ekibi kya Isirayiri
12 (A)Efulayimu aneebunguluzza obulimba,
n’ennyumba ya Isirayiri eneebunguluzza obukuusa,
ne Yuda ajeemedde Katonda,
ajeemedde omwesigwa Omutukuvu.
Abaggalatiya 6:7-8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)Temubuzibwabuzibwanga, Katonda tasekererwa, kubanga omuntu ky’asiga era ky’alikungula. 8 (B)Kubanga oyo asiga eri omubiri gwe, alikungula ebiggwaawo. Naye oyo asiga eri omwoyo, alikungula obulamu obutaggwaawo.
Read full chapter
Zabbuli 33:16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 (A)Tewali kabaka asobola kuwona olw’obunene bw’eggye lye;
era tewali mulwanyi ayinza kuwona olw’amaanyi ge amangi.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.