Yobu 24:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)Basindiikiriza omunaku ne bamuggya mu kkubo,
ne bawaliriza abaavu bonna mu ggwanga okwekweka.
Zabbuli 35:13-14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
13 (A)So nga bwe baalwala nanakuwala ne nnyambala ebibukutu,
ne neerumya nga nsiiba, ne nsaba Mukama nga nkotese omutwe,
naye okusaba kwange bwe kutaddibwamu,
14 ne mbeera mu nnaku
ng’ankungubagira ow’omukwano
oba owooluganda nkoteka omutwe gwange mu buyinike
ng’akaabira nnyina.
Abaruumi 12:15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
15 (A)Musanyukirenga wamu n’abo abasanyuka, era mukaabirenga wamu n’abo abakaaba.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.