Yobu 4:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)Okusinziira ku kyendabye; abo abateekateeka okukola ebibi era ne basiga ebitali bya butuukirivu,
bakungula bizibu.
Engero 14:14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 (A)Omuntu atalina kukkiriza alisasulwa empeera emusaanira olw’ebikolwa bye,
n’omuntu omulungi naye alisasulwa eyiye.
Isaaya 3:11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
11 (A)Zisanze abakozi b’ebivve! Banaatuuka mu kuzikirira!
Balisasulibwa emikono gyabwe kye gikoze.
Yeremiya 6:19
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
19 (A)Wuliriza, ggwe ensi:
laba, ndeeta akabi ku bantu bano,
by’ebibala by’enkwe zaabwe,
kubanga tebafuddeeyo ku bigambo byange
n’etteeka lyange baligaanye.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.