Add parallel Print Page Options

Ensalo za Yuda

15 (A)Omugabo gw’abaana ba Yuda ng’enju zaabwe bwe zaali bwe baakuba akalulu, baaweebwa ekitundu okutuuka ku nsalo ya Edomu, ku lukoola lwa Zini, ku nkomerero y’oluuyi olw’obukiikaddyo.

N’ensalo yaabwe ey’oluuyi olwo okuva ku Nnyanja ey’Omunnyo w’eva, ku kikono ekitunudde mu bukiikaddyo; (B)n’esala wansi w’ekkubo eririnnya ku Akkulabimu n’eyita okutuuka ku Zini n’erinnya okuyita wansi wa Kadesubanea, n’eyita kumpi ne Kezulooni, n’erinnya ku Addali, n’ekyamira ku Kaluka; (C)n’eyita ku Azumoni n’ekoma ku mugga ogw’e Misiri, n’eryoka esibira ku nnyanja. Eno ye yali ensalo yaabwe ey’obukiikaddyo.

(D)N’ensalo yaabwe ey’obuvanjuba yali nnyanja ey’obukiikakkono. Kyali kikono kya Yoludaani we guyiyira ku Nnyanja ey’Omunnyo.

N’ensalo ey’obukiikakkono kyali kikono kya nnyanja Yoludaani we guyiyiramu. (E)N’eyambuka n’eyita ku Besukogula n’eyita ku luuyi lw’ebuvanjuba bwa Besualaba n’eyambuka okutuuka ku jjinja lya Bokani omwana wa Lewubeeni. (F)Era n’erinnya ku Debiri okuva mu kiwonvu Akoli, n’egenda ku luuyi olw’obukiikakkono, n’edda e Girugaali emitala w’ekkubo eryambuka ku Adummimu, ekiri emitala w’omugga mu bukiikaddyo, n’etuuka ku nsalo ku mazzi ag’e Ensemesi, n’esala n’ekoma ku Enerogeri. Awo n’eryoka eyita ku kiwonvu kya Kinomu ku luuyi lw’ebugwanjuba ekyali ku nkomerero ey’ekiwonvu kya Lefayimu ku luuyi olw’obukiikakkono. (G)Awo n’eryoka eva ku kiwonvu ky’omwana wa Kinomu n’etuuka ku njegoyego za Yebusi ku luuyi olw’obukiikaddyo ye Yerusaalemi, ne yeeyongera ku ntikko y’olusozi oluli w’okkira mu kiwonvu kya Kinomu ku luuyi olw’ebugwanjuba, ku nkomerero y’ekiwonvu kya Lefayimu mu bukiikakkono; (H)ne yeeyongera okuva ku ntikko y’olusozi n’etuuka ku luzzi olw’amazzi ga Nefutoa, ne yeeyongerayo n’etuuka ku bibuga eby’oku lusozi Efuloni, n’etuuka ku Baala, ye Kiriyasuyalimu, 10 (I)n’ewetamu okuva e Baala ku luuyi olw’ebugwanjuba n’etuuka ku lusozi Sayiri n’eyita n’etuuka ku mabbali g’olusozi Yealimu ku luuyi olw’omu bukiikakkono, ye Kyesaloni, n’ekka ku Besusemesi, n’eyita ku Timuna, 11 (J)n’egenda ku mabbali ag’e Ekuloni mu bukiikakkono, n’ekka ku Sikkeroni n’etuuka ku lusozi Baala, n’ekoma ku Yabuneeri, ne ku nnyanja.

12 (K)Ensalo ey’ebugwanjuba yali Ennyanja Ennene n’olubalama lwayo.

Eyo ye yali ensalo y’abaana ba Yuda ku njuyi zonna ng’enju zaabwe bwe zaali.

Omugabo gwa Kalebu

13 (L)Yoswa n’awa Kalebu omwana wa Yefune omugabo mu baana ba Yuda Kiriasualuba, ye Kebbulooni, ng’ekiragiro kya Mukama bwe kyali. Aluba ye yali kitaawe wa Anaki. 14 (M)Kalebu n’agobamu abaana abasatu aba Anaki: Sesayi ne Akimaani, ne Talumaayi, abaana ba Anaki. 15 N’ava eyo n’alumba abaali mu Debiri, edda eyayitibwanga Kiriasuseferi. 16 (N)Kalebu n’agamba nti, “Anaakuba Kiriasuseferi n’akiwamba ndimuwa muwala wange Akusa amuwase.” 17 (O)Osunieri omwana wa Kenazi, muganda wa Kalebu, n’akikuba, Kalebu n’amuwa Akusa muwala we amuwase.

18 Awo bwe yajja gy’ali, n’amugamba asabe kitaawe ennimiro. Bwe yava ku ndogoyi ye, Kalebu n’amubuuza nti, “Kiki kyoyagala nkukolere?” 19 N’addamu nti, “Nsaba onnyambe nga bwe wampa ettaka mu Negebu, ompe n’ensulo z’amazzi.” Kalebu n’amuwa ensulo ez’engulu n’ez’emmanga.

Omugabo gwa Yuda

20 Guno gwe mugabo gw’ekika ky’abaana ba Yuda ng’enju zaabwe bwe zaali.

21 (P)Ebibuga ebyali bisemberayo ddala mu bukiikaddyo mu Negebu eri ensalo ya Edomu byali,

Kabuzeeri, n’e Ederei n’e Yaguli, 22 n’e Kina n’e Dimona, n’e Adada, 23 n’e Kedesi, n’e Kazoli, n’e Isunani, 24 (Q)n’e Zifu, n’e Teremu n’e Beyaloosi, 25 n’e Kazolukadatta, n’e Keriosukezulooni, ye Kazoli, 26 (R)n’e Amamu n’e Sema, n’e Molada, 27 n’e Kazalugadda n’e Kesuboni, n’e Besupereti 28 (S)n’e Kazalusuwali, n’e Beeruseba n’e Biziosia 29 n’e Baala n’e Yimu, n’e Ezemu, 30 (T)n’e Erutoladi n’e Kyesiri n’e Koluma, 31 (U)n’e Zikulagi, n’e Madumanna, n’e Samusanna, 32 (V)n’e Lebaosi, n’e Sirukimu, n’e Ayini, n’e Limmoni. Ebibuga byonna awamu amakumi abiri mu mwenda, n’ebyalo byabyo.

33 (W)Era ne mu nsi ey’ensenyi Esutaoli, n’e Zola, n’e Asuna, 34 (X)n’e Zanowa n’e Engannimu, n’e Tappua, n’e Enamu, 35 (Y)n’e Yalamusi n’e Adulamu, n’e Soko, n’e Azeka 36 (Z)n’e Saalayimu, n’e Adisaimu, n’e Gedera, n’e Gederosaimu, ebibuga kkumi na bina n’ebyalo byabyo.

37 Zenani, n’e Kadasa, n’e Migudalugadi, 38 (AA)n’e Dirani, n’e Mizupe, n’e Yokuseeri, 39 (AB)n’e Lakisi, n’e Bozukasi, n’e Eguloni, 40 n’e Kabboni, n’e Lamamu, n’e Kitulisi, 41 (AC)n’e Gederosi, Besudagoni, n’e Naama, n’e Makkeda, ebibuga kkumi na mukaaga n’ebyalo byabyo.

42 (AD)Libuna n’e Eseri, n’e Asani, 43 n’e Ifuta n’e Asuna, n’e Nezibu, 44 (AE)n’e Keira, n’e Akuzibu, n’e Malesa, ebibuga mwenda n’ebyalo byabyo.

45 Ekuloni n’ebibuga byamu n’ebyalo byakyo, 46 okuva ku Ekuloni okutuuka ku nnyanja, ebibuga byonna ebiriraanye Asudodi n’ebyalo byabyo; 47 (AF)Asudodi, ebibuga byakyo n’ebyalo byakyo; Gaza, ebibuga byakyo n’ebyalo byakyo okutuuka ku mugga ogw’e Misiri, n’ennyanja ennene, n’ensalo yaayo.

48 (AG)Ne mu nsi ey’ensozi,

Samiri, n’e Yattiri, n’e Soko, 49 (AH)ne Danna, ne Kiriasusanna, ye Debiri, 50 (AI)ne Anabu, n’e Esutemoa, n’e Animu, 51 (AJ)n’e Goseni, n’e Koloni, n’e Giro, ebibuga kkumi na kimu n’ebyalo byabyo.

52 (AK)Alabu, n’e Duma, n’e Esani, 53 n’e Yanimu, n’e Besutappua, n’e Afeka, 54 n’e Kumuta n’e Kiriasualuba, ye Kebbulooni, n’e Zioli ebibuga mwenda n’ebyalo byabyo.

55 (AL)Mawoni, n’e Kalumeeri, n’e Zifu, n’e Yuta, 56 (AM)n’e Yezuleeri, n’e Yokudeamu, n’e Zanoa, 57 (AN)Kaini, n’e Gibea, n’e Timuna, ebibuga kkumi n’ebyalo byabyo.

58 (AO)Kalukuli, Besuzuli, n’e Gedoli; 59 n’e Maalasi, n’e Besuanosi, n’e Erutekoni, ebibuga mukaaga n’ebyalo byabyo.

60 (AP)Kiriasubaali, ye Kiriyasuyalimu, n’e Laaba ebibuga bibiri n’ebyalo byabyo.

61 Mu ddungu:

Besualaba, n’e Middini, n’e Sekaka, 62 (AQ)n’e Nibusani, n’ekibuga eky’omunnyo, n’e Engedi, ebibuga mukaaga n’ebyalo byabyo.

63 (AR)Abayebusi, be baali mu Yerusaalemi abaana ba Yuda ne batayinza kubagobamu; Abayebusi ne babeera wamu n’abaana ba Yuda mu Yerusaalemi n’okutuusa kaakano.

Allotment for Judah(A)

15 The allotment for the tribe of Judah, according to its clans, extended down to the territory of Edom,(B) to the Desert of Zin(C) in the extreme south.(D)

Their southern boundary started from the bay at the southern end of the Dead Sea,(E) crossed south of Scorpion Pass,(F) continued on to Zin and went over to the south of Kadesh Barnea.(G) Then it ran past Hezron up to Addar and curved around to Karka. It then passed along to Azmon(H) and joined the Wadi of Egypt,(I) ending at the Mediterranean Sea. This is their[a] southern boundary.

The eastern boundary(J) is the Dead Sea(K) as far as the mouth of the Jordan.

The northern boundary(L) started from the bay of the sea at the mouth of the Jordan, went up to Beth Hoglah(M) and continued north of Beth Arabah(N) to the Stone of Bohan(O) son of Reuben. The boundary then went up to Debir(P) from the Valley of Achor(Q) and turned north to Gilgal,(R) which faces the Pass of Adummim south of the gorge. It continued along to the waters of En Shemesh(S) and came out at En Rogel.(T) Then it ran up the Valley of Ben Hinnom(U) along the southern slope of the Jebusite(V) city (that is, Jerusalem(W)). From there it climbed to the top of the hill west of the Hinnom Valley(X) at the northern end of the Valley of Rephaim.(Y) From the hilltop the boundary headed toward the spring of the waters of Nephtoah,(Z) came out at the towns of Mount Ephron and went down toward Baalah(AA) (that is, Kiriath Jearim).(AB) 10 Then it curved westward from Baalah(AC) to Mount Seir,(AD) ran along the northern slope of Mount Jearim (that is, Kesalon), continued down to Beth Shemesh(AE) and crossed to Timnah.(AF) 11 It went to the northern slope of Ekron,(AG) turned toward Shikkeron, passed along to Mount Baalah(AH) and reached Jabneel.(AI) The boundary ended at the sea.

12 The western boundary is the coastline of the Mediterranean Sea.(AJ)

These are the boundaries around the people of Judah by their clans.

13 In accordance with the Lord’s command to him, Joshua gave to Caleb(AK) son of Jephunneh a portion in Judah—Kiriath Arba(AL), that is, Hebron.(AM) (Arba was the forefather of Anak.)(AN) 14 From Hebron Caleb drove out the three Anakites(AO)—Sheshai, Ahiman and Talmai,(AP) the sons of Anak.(AQ) 15 From there he marched against the people living in Debir (formerly called Kiriath Sepher). 16 And Caleb said, “I will give my daughter Aksah(AR) in marriage to the man who attacks and captures Kiriath Sepher.” 17 Othniel(AS) son of Kenaz, Caleb’s brother, took it; so Caleb gave his daughter Aksah to him in marriage.

18 One day when she came to Othniel, she urged him[b] to ask her father for a field. When she got off her donkey, Caleb asked her, “What can I do for you?”

19 She replied, “Do me a special favor. Since you have given me land in the Negev,(AT) give me also springs of water.” So Caleb gave her the upper and lower springs.(AU)

20 This is the inheritance of the tribe of Judah, according to its clans:

21 The southernmost towns of the tribe of Judah in the Negev(AV) toward the boundary of Edom were:

Kabzeel,(AW) Eder,(AX) Jagur, 22 Kinah, Dimonah, Adadah, 23 Kedesh,(AY) Hazor,(AZ) Ithnan, 24 Ziph,(BA) Telem, Bealoth, 25 Hazor Hadattah, Kerioth Hezron (that is, Hazor),(BB) 26 Amam, Shema, Moladah,(BC) 27 Hazar Gaddah, Heshmon, Beth Pelet, 28 Hazar Shual,(BD) Beersheba,(BE) Biziothiah, 29 Baalah,(BF) Iyim, Ezem,(BG) 30 Eltolad,(BH) Kesil, Hormah,(BI) 31 Ziklag,(BJ) Madmannah,(BK) Sansannah, 32 Lebaoth, Shilhim, Ain(BL) and Rimmon(BM)—a total of twenty-nine towns and their villages.

33 In the western foothills:

Eshtaol,(BN) Zorah,(BO) Ashnah,(BP) 34 Zanoah,(BQ) En Gannim,(BR) Tappuah,(BS) Enam, 35 Jarmuth,(BT) Adullam,(BU) Sokoh,(BV) Azekah,(BW) 36 Shaaraim,(BX) Adithaim and Gederah(BY) (or Gederothaim)[c]—fourteen towns and their villages.

37 Zenan, Hadashah, Migdal Gad, 38 Dilean, Mizpah,(BZ) Joktheel,(CA) 39 Lachish,(CB) Bozkath,(CC) Eglon,(CD) 40 Kabbon, Lahmas, Kitlish, 41 Gederoth,(CE) Beth Dagon,(CF) Naamah and Makkedah(CG)—sixteen towns and their villages.

42 Libnah,(CH) Ether, Ashan,(CI) 43 Iphtah, Ashnah,(CJ) Nezib, 44 Keilah,(CK) Akzib(CL) and Mareshah(CM)—nine towns and their villages.

45 Ekron,(CN) with its surrounding settlements and villages; 46 west of Ekron, all that were in the vicinity of Ashdod,(CO) together with their villages; 47 Ashdod,(CP) its surrounding settlements and villages; and Gaza, its settlements and villages, as far as the Wadi of Egypt(CQ) and the coastline of the Mediterranean Sea.(CR)

48 In the hill country:

Shamir,(CS) Jattir,(CT) Sokoh,(CU) 49 Dannah, Kiriath Sannah (that is, Debir(CV)), 50 Anab,(CW) Eshtemoh,(CX) Anim, 51 Goshen,(CY) Holon(CZ) and Giloh(DA)—eleven towns and their villages.

52 Arab, Dumah,(DB) Eshan, 53 Janim, Beth Tappuah, Aphekah, 54 Humtah, Kiriath Arba(DC) (that is, Hebron) and Zior—nine towns and their villages.

55 Maon,(DD) Carmel,(DE) Ziph,(DF) Juttah,(DG) 56 Jezreel,(DH) Jokdeam, Zanoah,(DI) 57 Kain, Gibeah(DJ) and Timnah(DK)—ten towns and their villages.

58 Halhul, Beth Zur,(DL) Gedor,(DM) 59 Maarath, Beth Anoth and Eltekon—six towns and their villages.[d]

60 Kiriath Baal(DN) (that is, Kiriath Jearim(DO)) and Rabbah(DP)—two towns and their villages.

61 In the wilderness:(DQ)

Beth Arabah,(DR) Middin, Sekakah, 62 Nibshan, the City of Salt and En Gedi(DS)—six towns and their villages.

63 Judah could not(DT) dislodge the Jebusites(DU), who were living in Jerusalem;(DV) to this day the Jebusites live there with the people of Judah.(DW)

Footnotes

  1. Joshua 15:4 Septuagint; Hebrew your
  2. Joshua 15:18 Hebrew and some Septuagint manuscripts; other Septuagint manuscripts (see also note at Judges 1:14) Othniel, he urged her
  3. Joshua 15:36 Or Gederah and Gederothaim
  4. Joshua 15:59 The Septuagint adds another district of eleven towns, including Tekoa and Ephrathah (Bethlehem).