Yoswa 13:16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 (A)Ensalo yaabwe ng’eva ku Aloweri, ekiri ku mabbali g’ekiwonvu eky’Alunoni, n’ekibuga ekiri wakati mu kiwonvu, n’olusenyi lwonna oluliraanye Medeba,
Balam 11:26
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
26 (A)Isirayiri emaze emyaka ebikumi bisatu mu Kesuboni n’ebyalo byayo, ne mu Aloweri n’ebyalo byayo, ne mu bibuga byonna ebiri ku lubalama lwa Alunoni. Kiki ekyabalobera okubyeddiza mu kiseera ekyo?
Read full chapter
Yeremiya 48:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 Omuzikiriza alirumba buli kibuga,
era tewali kibuga kiriwona.
Ekiwonvu kiryonoonebwa
n’olusenyu luzikirizibwe
kubanga Mukama ayogedde.
Yeremiya 48:21
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
21 (A)Okusala omusango kutuuse mu nsi ey’ensenyi
ku Koloni ne ku Yaza ne ku Mefaasi,
Okubala 21:30
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
30 (A)“Naye tubawangudde
Kesuboni azikiridde okutuukira ddala ku Diboni.
Tubafufuggazza okutuuka ku Nofa,
kwe kutuukira ddala ku Medeba.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.