Zabbuli 113:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)ne yeetoowaza
okutunuulira eggulu n’ensi?
Isaaya 57:15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
15 (A)Kubanga bw’atyo bw’ayogera oyo ali waggulu
omugulumivu omulamu emirembe n’emirembe,
ow’erinnya ettukuvu nti,
“Ntuula mu kifo ekigulumivu ekitukuvu
awamu n’oyo alina omwoyo oguboneredde ogwetoowaza,
okuzzaamu amaanyi
omwoyo gw’abakkakkamu,
era n’ogw’abo ababoneredde.
Engero 3:34
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
34 (A)Ddala ddala, Mukama anyooma abanyoomi,
naye abeetoowaza abawa ekisa.
Yakobo 4:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Kyokka Omwoyo omukulu oyo era agaba ekisa kingi. Kyekiva kigamba nti,
“Katonda alwana n’ab’amalala
naye abawombeefu abawa ekisa.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.