Add parallel Print Page Options

15 (A)Naye ggwe, Mukama Katonda oli musaasizi era ow’ekisa,
    olwawo okusunguwala, ojjudde okwagala n’obwesigwa.

Read full chapter

18 (A)Mukama Katonda alwawo okusunguwala, era ajjudde okwagala okutaggwaawo, era asonyiwa ekibi n’obujeemu. Naye era asingiddwa omusango tamuleka nga tabonerezebbwa; abonereza abaana olw’ebibi bya bakadde baabwe okutuuka ku mulembe ogwokusatu n’ogwokuna.’

Read full chapter

(A)Oba onyooma ekisa kya Katonda ekingi, n’okugumiikiriza kwe n’obukwatampola bwe? Tomanyi ng’ekisa kya Katonda kikuleeta mu kwenenya?

Read full chapter

17 (A)Baagaana okukuwuliriza, ne batassaayo mwoyo okujjukira ebyamagero bye wakolera mu bo. Baakakanyaza ensingo zaabwe, era mu bujeemu bwabwe ne balonda omukulembeze okuddayo mu buddu bwabwe. Naye ggwe Katonda asonyiwa, ow’ekisa era ajjudde okusaasira, alwawo okusunguwala era ajjudde okwagala, tewabaleka.

Read full chapter

(A)Mukama wa kisa era ajjudde okusaasira,
    tasunguwala mangu, era alina okwagala okutaggwaawo.

Read full chapter

13 (A)Muyuze emitima gyammwe
    so si byambalo byammwe.
Mudde eri Mukama Katonda wammwe,
    kubanga ajjudde ekisa n’okusaasira,
era tasunguwala mangu; ajjudde okwagala okutaggwaawo;
    n’abandisaanidde okubonerezebwa abasonyiwa.

Read full chapter

Okwagala kwo kunene, kutumbiira okutuuka ku ggulu;
    n’obwesigwa bwo butuuka ku bire.

Read full chapter